SSENTE! Abali ku misango gy’obuseegu bakomawo

©GALAXY

SSENTE! Abali ku misango gy'obuseegu bakomawo. Emisango gyonna, gyanagomola, nga balina kwewozaako nga batuuse mu kkooti enkulu


Abantu 4 abaakwatibwa ku misango gy’okutambuza obuseegu enkya ya leero, bakomezebwawo mu kkooti esookerwako e Kira.

Abakwate kuliko

1 – Vivian Kobela, myaka 21 nga mutuuze we Mbalwa e Namugongo mu disitulikiti y’e Wakiso

2 – Martha Lubango myaka 20, nga mutuuuze we Kyaliwajjala

3 – Irene Nazziwa myaka 22 ne

4 – Juma Oguti myaka 28, asikaali eyali akuuma ekifo.

Bonna, 4 bakomawo mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Kira, Ivan Seguya.

Mu kkooti, Kobela, Lubango ne Nazziwa, baggulwako emisango 26 egy’okwenyigira mu kukusa abantu, ate asikaali Oguti, emisango 22, nga gyonna gyekuusa ku nsonga zezimu.

Emisango gyonna, gyanagomola, nga balina kwewozaako nga batuuse mu kkooti enkulu.

Okunoonyereza kulaga nti abantu abo, n’abalala abakyaliira ku nsiko wakati wa September, 2025 ne May, 2026 mu bitundu bye Mbalwa mu disitulikiti y’e Wakiso, bakungaanya abawala  omuli n’omwana omuto myaka 17 nga basuubiziddwa emirimu kyokka ne badda mu nsonga z’obuseegu omuli okweyambula mu maaso Kamera, Kompyuta n’ebitaala, ne bakwata obutambi nga bali bukunya, obw’okutunda.

Mungeri y’emu baludde nga basindika abawala abo, okutundibwa mu bitundu bye Namugongo, Kira, Bulindo, Kisaasi, Najeera ssaako ne Mukono.

Nga 19, May, 2026, Poliisi yakwata abantu 27, abamu baayimbulwa kakalu ka Poliisi nga mu kiseera kino, 4 bali mu kkooti.

Mu kkooti, nga 22, July, 2026, mu maaso g’omulamuzi Ivan Seguya bategeezebwa, nti abakugu, bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A